AMATIKKIRA E KYAMBOGO :Kkooti egobye okusaba kw’abayizi abaafikidde
Kkooti ekkiriza okuttikkira kw'abayizi ku yunivasite eKyambogo okugenda mu maaso nga bwekwabadde kutegekeddwa ssabiti ejja.Kino kiddiridde akulira abalamuzi oba Principal Judge Flavian Zeija okugoba okusaba okwekiseera okwabadde kutwaliddwa mu kkooti abayizi abalina okuttikirwa 45 .
Bano balumiriza abakulu e Kyambogo obutateeka manya gabwe ku lukalala lwa'abalina okuttikirwa wadde nga balina ebisaanyizo byona.
Omulamuzi Zeija ategeezeza nti ebirayiro byabayizi nga bawagira omusango guno , okujjako omu yekka ebirala tebyabadde mu mateeka nga bwegalagira .Kino kitegeeza nti tewabadde bujjulizi bwona busobola kugobererwa mu musango guno. Gwo omusango omunene bano gwebaawaba ogulimu kalonda omulala gwakuwulirwa nga munaana omwezi ogujja .