AMATABA MU BUVANJUBA:11 be baakafa, amayumba enguudo n’ebirime byonooneddwa
Wetuggyidde ku mpewo ng'Abantu11 be bakakasidwa okuba nga bafiiridde mu mataba agavudde ku kubooga kw'e migga mu buvanjuba bwa Uganda okulese nga nenguudo zisaliddwako so ng'amayumba n'ebirime nabyo byonooneddwa Okubooga kw'emigga okuli Nabuyonga, Nashibisho, Nambale ne Namatala kwavudde ku nnamutikkwa w'enkuba afudembye mu kiro ekikeesezza Ssaabaminisita Robinah Nabbanja azambalidde ku mugongo okutuukako mu kitundu kino era alagidde poliisi n’amagye biyambeko mu kaweefube w'okunyulula emmotoka ezikyabidde mu mazzi kubanga waliwo okutya nti mulimu abantu abawagamidde.