AMATABA E RAKAI :Ennyanja Kijjanabalola eriko beesazeeko, waliwo abafudde
Abatuuze ku byalo ebiwerako mu district ye Rakai bali mu kutya olw’amazzi okuva ku nnyanja Kijjanabalola agaabasazeeko negasuula amayumba gabwe ekiviiriddeko abantu n’ebisolo okufa .Ebitundu ebyasaliddwako amazzi kuliko Kagaaga, Kacheera, Bbaale-Kanagisa ne Katatenga .Kigambibwa nti ennyanja eno egira nesenguka ate nedda , nga yakikola omwaka oguwedde mu gw’okutaano ku mwalo gwe Kalunga .