AMATABA E NTOROKO: Abayizi b’ebibiina eby’enjawulo basomera mu weema emu
Abasomesa n'abazadde mu Ggombolola y'e Kanara mu disitulikit y'e Ntoroko eyasinga okukosebwa amataba, basabye gavumenti okwanguyako enteekateeka z'okubajja mu nkambi batwalibwe mu bifo ebyenkalakkalira kisobozese abayizi baayo okusoma obulungi n'okuvuganya n'abayizi abalala.
Mu kiseera kino abaana ba primary basomera mu mbeera mbi nga ebibiina bibiri bigatta weema.
Abasomesa era batutegeezezza nti abaana bangi tebeebaka bulungi ekiro mu nkambi mwebasula, kubanga bazadde baabwe bayimiriddewo ku birabo byamwenge nga bikola kumpi okukeesa obudde. Kino kibaviirako okusimagira mu bibiina enkeera.