AMASOMO AGATALI MAKAKASE :Akakiiko akalondoola kaakusisinkana abakulira yunivaasite
Akakiiko akalondoola amatendekerro agawaggulu aka National council for highier education kategeezeza nga bwekagenda okusisinkana abamyuka abakulira amatendekero oba ba Vice-Chancellor saako abakulira amatendekero amalala begeyeemu ku bikwatagana n'okukakasa amasomo agasomesebwa abayizi . Kino kigendereddwamu okumalawo obunkenke obuli mu b’ebyenjigiriza, abazadde wamu n'abayizi ku masomo agatakakasibwanga .