Amagye ssigaakukyusa baduumizi e Karamoja
Ba Minisita b'ebyokwerinda n'obutebenkevu bagaanye okusaba kw’ababaka ba palamenti okukyusa abakulira ebitongole ebikuuma ddembe mu kitundu kye Karamoja okusoba okuzza emirembe mu kitundu kino .Ababaka naddala abava mu kitundu kye Karamoja balumiriza abamu ku bakuuma ddembe okubeera emabega w'obunyanzi bw'ente omufiriddemu abantu.Minisita w'ebyobutebenkevu Jim Muhwezi ebyogerwa ababaka abisambazze.