Amagye geegaanye eby’okutulugunya Alexandria Marinos
Amagye ga UPDF gavuddeyo negategeeza nga abaserikale babwe bwebatawambanga saako okutulugunya omuwangizi w'e kibiina kya NUP Alexandria Marinos .Mu lukungaana lw'abnamawulire lwatuuziza olwaleero , omwogezi wa UPDF Brig Felix Kulaigye ategeezezza nga olunaku Alexandria lwagamba nti kweyawambibwa balina obujjulizi nti yalumala ali ku masimu nga ayogera nemikwano gye nemikwano gye .Kulayigye era alaze abasajja Alexandria balumiriza nti bebamutulugunya omuli n'okumukaka omukwano , nga omu ku bbo mulirwanawe era nga ategeezezza nga bayambako amagye mu kunoonya amawulire agekikessi.