AMABANJA GA UGANDA : Bannakyewa baagala gavumenti ebeere n’obweruufu
Waliwo bannakyewa abasabye gavumenti yeekubemu ttooki ku ngeri gye yeewola kubanga amabanja gatuuse eggwanga mu bulago Wetwogerera ng'ebbanga lya Uganda lisukka mu buwumbi emitwalo musanvu mu enkumi ssatu nga mu njogera ennyangu zikunnukkiriza mu mbalirira y'eggwanga eyemyaka ebiri. Bannakyewa bano okuli Transparence International, SEATINI, ne Uganda Debt Network bagamba nti wasaanye wabeerewo obwerufu mu kwewola ssenti zino kubanga bwezitakola kyezigenderedde bannayuganda be banyigirizibwa.