Akamyufu ka NRM, okulonda kw’ebyalo kubaddemu ebbugumu mu Kampala
Okulonda kw’abakulembeze b’obukiiko bwa NRM ku mutendera gw’ebyalo okutwalira awamu kubaddemu ebbugumu mu Kampala. Okulonda kwabadde kusuubirwa okutandika ku ssaawa bbiri ez’okumakya wabula olw’enkuba eyakedde okutonnya entekaateka eno etataaganyiziddwa. Mu bitundu ebimu byetutuuseemu wabaddewo abalonzi abalindiridde okusimba mũ migongo gy’abeesimbyewo, so nga awalala wabaddeyo obutakkaanya ku nteekateeka erina okugobererwa.