AKABENJE KU MULIMU: Eyakafuna asobeddwa olw’ebbanja ly’eddwaliro
Nga ensi yonna ekuza olunaku lw’abakozi, wakyaliwo okusoomoozebwa eri abakozi abafunira obuvune oba obubenje ku mulimu nga kiva ku butamanya mateeka kye googera ku buvunaanyizibwa bw’omukozi n’omukozesa mu mbeera eno.
Ka tulabe emboozi ya Robert Mugabe eyagwa ku kabenje nga ava ku mulimu eddwaaliro gwe likyabanja obukadde obusukka mu Kinaana oluvannyuma lw’obutakwatagana n’abamukozesa mu ntaputa y’amateeka ku ani alina okusasula ebisale bino okubimalayo.