Akabenje k’e Kiteezi: Aba KCCA beerumirizza mu palamenti
Abakulu okuva mu kitongole ki KCCA abatuula ku lukiiko lw'ekikugu ne bannabyabufuzi kata bawanyisiganye ebigambo ebisongovu nga buli omu anenya munne olw'enjega eyagwa e Kiteezi. Bano babadde mu maaso g'akakiiko akalondoola enkozesa y'ensimbi z'omuwi w'omusolo mu Palamenti. Bano babuulidde ababaka nti baali bakimanya dda nti Kiteezi yajjula wabula nga ministry y'ebyensimbi yabamma ssente ezigula ekifo ekirala nga n'e Ddundu mu district y'e Mukono gye baali bafunye, abatuuze babalaalika nga bwebatetaaga Kasasiro waabwe.