ABDUL KARIM LUBEGA: Wuuno alina obulemu alafuubana olw’ekitone
Abdul Karim Lubega awangaala n’obulemu ku mukono ogwa ddyo bwe yafuna mu muliro ogwamwokera mu nju nga akyali mwana ddala. Obulemu buno tebwalemesa Lubega kunkanya kukuza kitone kya misinde era emirundi giweze nga yeetaba mu mpaka ez’enjawulo. Okusoomoozebwa kwalina okutuuka ku kirooto kye kwe kuba ekika ky'obulemu kyalina tekinnafunirwa muteeko gwa misinde mwayinza kwetaba.