Abayonja ekibuga beemulugunyizza ku musaala n’embeera
Abayonja ekibuga wansi w'ekitongole ki Kampala Capital City Authority bazzeemu okwemulugunya ku mbeera embi mwe bakolera gattako omusaala omutono, nga bagamba nti embeera eno etuuse okubeenyiya omulimu gwabwe. Bano balumiriza nti baalina essuubi mu bukulembeze bwa KCCA obupya okubagulira ebyeyambisibwa mu mirimu ng'enkampa, mask n'ebikofiira okuyonja ekibuga nga tebakyenyirira ekintu ekitaasoboka. Kyokka KCCA erumiriza nti eriko SSACO mw'eyisa emisaala gy'abakozi bano, era ng abo bebavunaanyizibwa ku kuwa abakozi bano ebyetaago ebyo bye beemulugunyaako.