ABAYIZI MU EAST AFRICA: Ekibiina ekigatta ab’amatendekero g’awaggulu kitongozeddwa
Omukago gwa East Africa gutongoza ekibiina ekigenda okugatta abayizi mu matendero agawagulu mu mawanga omukaaga agali mu mukago. Ssaabawandiisi w’omukago Peter Mathuki nga ali wamu ne sipiika wa palamenti y’omukago beyamye okuwagira abavubuka abagenda okusimba emirandira gyebigendererwa by’omukago. Ekirowozo ky’okutandika ekibiina ekigatta abayizi mu matendekero agawagulu kyatandikibwa abayizi ba Uganda.