Abavubi e Kigungu bali mu mbeera mbi
Waliwo Abavubi abaagobwa ku bizinga bye Makusa ne Lwamunyo Entebbe mu mwaka gwa 2018 abawangaalira mu mbeera embi ku mwalo gwe Kigungu gye baasengukira. Bano okugobwa baalangibwa okwesenza mu bifo ebyennyanja gye bizaalira. Gyebuvudeko omuliro gwasanyawo obuyumba mwebaali bakasenga era kati abasinga basula mu biveera olw’okubulwa webeegeka oluba.