ABATEEBEREZEBWA OKULYA EMMERE ERIMU OBUTWA: 3 bafudde, 8 bali bubi , 80 bajjanjabibwa
Abatuuze ku kyalo Bukasami mu Ggombolola y’e Buyengo mu disitulikiti ey’e Jinja bafunye eky’ekango kubigambibwa nti waliwo omuntu atannaba kuteegerekeka atadde obutwa mu mmere y’abakungubazi.Kiteeberezebwa okuba nga emmere eno baajirya mu lumbe lwa Ahmed Magumba eyaziikibwa ku sunday.