Abasuubuzi e Fort Portal bafunye obuweerere, kikkanyiziddwa nti empooza eyimiriizibwe
Okusika omuguwa wakati w’abasubuuzi mu butale e Fort Portal n’abakulembeze mu kibuga ekyo kwandikendeerako oluvannyuma lw’okukkaanya nti empooza ebaddenga ebaggyibwako buli lunaku eyimirire. Lubereera abasubuuzi babaddenga balajaanira abakulu bano okukyusaamu nti kuba omwaka weguggwerako baba basasudde ensimbi enyingi okusinga bannaabwe abasasula layisensi ey’omwaka. Buli lunaku omusubuuzi mu katale asasula wakati w’ekumi ssatu n’enkumi nnya ensimbi zebagamba nti nyingi.