Abalamuzi baweereddwa omwaka gumu gwokka okumalawo emisango egyetuumye
Abalamuzi bateegezeddwa nga kati bwekibakakatako okuwulira nokulamula emisango mu bbanga lya mwaka gumu gwokka.Singa balemererwa okukikola baakubuuzibwa akana nakataano. Ekiragiro kino kiweereddwa Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo nga agamba nti kati okwekwasa kulina kubeera kutono kubanga waliwo nabalamuzi abapya abawandiikiddwa okwenganga embeera eno.