Abalaalo baddukidde mu palamenti ne kkooti bayambibwe
Abalaalo abawangaalira mu Bukiika kkono bwa Uganda ne kati bakyatuula obufoofofo olw'ekiragiro ky'omukulembeze w'eggwanga ekibalagira okwamuka ekifo ekyo. Bano bali mu kuddukira buli webasuubira obuyambi, ng'olunaku lwa leero kumpi balumaze ku palamenti y'eggwanga nga banoonya webayisa ekiwandiiko ekirimu okwemulugunya kwabwe kituuke ku sipiika. Olunaku lw'eggulo era baabadde mu kkooti enkulu nga basaba esazeemu ekiragiro ky'omukulembeze.