Abakozi ba Tembo Steel beediimye, kiddiridde munnabwe okufiira ku mulimu
Abakozi ba kampuni enkozi y'emitayimbwa Tembo Steel Mills, olwaleero bagaanye okulinnya ku mulimu oluvannyuma lwa munnaabwe okukubwa ekyuma mu mutwe n'afa. Kigambibwa nti Moreen Lonyolo, nga wa myaka 24 ekyuma kyamukubye mu kiro ekikeseezza olwaleero. Bano balumiriza bakama baabwe okugoba abantu abalina obukugu bw'emirimu egimu nebasindikayo bbo abatamanyi bwebikola olwo nebafuna obuzibu. Ba nnyini kampuni eno bagamba okufa kwa Lonyolo kaabadde kabenje.