Abajingirira ebiwandiiko okufuna obutuuze awalala bubakeeredde
Bannayuganda abajingirira ebiwandiiko okufuna obutuuze mu mawanga amalala bubakeredde kubanga gavumenti ya kuno eteekateeka okubaggyako obutuuze bwa Uganda. Kamisona mu minisitule y'ensonga z'omunda mu kitongole ky'ebyentambula, Marcellino Bwesigye, aliko by'alambuludde ku nsonga eno bw'abadde mu nsisinkano n'ababaka ba Palamenti y'omukago gwa East Africa e Kampala.