ABAFUMBO ABATIINI E KAMULI: Waliwo abadduukiriddwa pulezidenti wa NUP
Waliwo emboozi gye twagulako omwezi oguwedde, ey'abaana abaafumbiriganwa nga abawala tebasukka myaka 15 ate ba bbaawe nga tebasukka myaka 17. Bano twabasanga mu bitundu by'e Busoga eyo nga ate abakyala bali mbuto wabula ng'embeera gye bayitamu ey'obwavu ebejjuzisa kya baakola. Abakyala bbo baali mu bweraliikirivu okukuza embuto bazaale bulungi, era wetwaddiddeyo ng'omu yalwala omusujja gw'ensiri ne luvaamu. Bannayugana abaasinziira ku kibanja kya X omuli ne president wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi badduukiridde abatiini bano okulaba nga babeerako mu bulabu obweyagaza. Joel Ssenyonyi akulira oludda oluvuganya mu palamenti yeyatusiizza obubaka bwa Kyagulanyi.