Abaddukanya amasomero boogedde okusoomoozebwa kwe boolekedde
Abakulu b’amasomero batandise okwebuuza engeri gye bagenda okuzza abasomesa baabwe mu masomero. Abamu ku bakulu bano batubuulidde nti emirimu egirindiridde abasomesa baabwe minene ate gya kubasoomooza nnyo ekiyinza okuvaako abamu okwesonyiwa eby’okusomesa. Ekyo nga okiresse, amasomero agamu tegagenda kusobola basomesa ssente ezisinga kwezo ze bafuna kati mu mirimu emirala gye baatandika emyaka ebiri egiyise okuva amasomero lwe gaggalwa.