Ababaka ba Uganda mu EALA baaganye okwetaba mu ntuula
Ababaka abakikirira Uganda mu palamenti y’omukago gwa East Africa bagaanye okudamu okwetaba mu ntuula za palamenti eno okutuusa nga ensonga z’okuyingizsa abakozi zebagamba nti tezirimu bwenkanya zigonjodwa. Sipiika wa palamenti eno Martin Ngoga ayimiriza olutuula lwa palamenti olwolwaleero okutuusa nga otuusa kulwokubiri lwa wiiki okutuusa nga minisita wa Uganda Rebecca Kadaga alabiseko mu Arusha okugonjoola okusika omuguwa okugenda mu maaso.