ABAANA BANNABANSASAANA ABAAGATTULULWA: Waliwo abazadde abatubidde nabo e Mulago, baagala buyambi
Eddwaliro lye Mulago er'ekikugu litubidde n'abalongo abazaalibwa nga beegasse mu 2021 e Hoima oluvannyuma nebagattululwa ogwokubiri omwaka oguwe. Tukitegedde nti abaana bano kati bawezezza emyezi ena era batuuze okusiibulwa. Wabula okusinziira ku basawo e Mulago embeera yamaka gabazadde babaana bano oluvannyuma lwokwekeneenyezebwa kizuuliddwa nti tesobola kubalabirira l okusobola okukula obulungi nga yensonga lwaki tebannasiibulwa.