Aba NUP e Kenya si basanyufu ku ky'okulumya Bobi Wine
Abavubuka abawagizi ba NUP abawangaalira e Kenya bategeezezza nga okwanukula kwa poliisi ku buvune pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi bweyafunira mu kavuvungano akaalimu poliisi n’abamu ku bawagizi be beyali atambudde nabo bwekutamatiza. Poliisi olunaku lw’eggulo yategeezezza nga bwekyanoonyereza ekituufu ekyaviirako Robert Kyagulanyi okulumizibwa kyokka ensobi eno eginenyeza bawagizi ba Kyagulanyi beyalaze mu katambi nga bakasuukirira poliisi amayinja.