ABA NUP ABAKWATIBWA: Ekibiina kitadde gavumenti ku nninga
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu alagidde abakulembeze ba NUP bonna abalonde okussa ku bbali ensonga endala wabula amaanyi bagateeke ku nsonga y’okubanja eddembe lya banna Uganda abakwatibwa ab’ebyokwerinda abamu nebataddamu kulabibwa abalala nebasibibwa essaawa ezisukka mu mateeka saako n’okubatulugunya. Kyagulanyi asiimye omubaka Zaake olw’ekikolwa kyeyakoze olunaku lw’eggulo mu palamenti n’ayambalira omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa okulemesa omubaka okwogera ku nsonga eziruma banna Uganda.
Wabula ono yekengedde ku bulumbaganyi obukolebwa ku poliisi nga agamba nti kasuubire nti gavumenti tebuteeke ku b'oludda oluvuganya.