6 bakwatiddwa e Kabale lwa kukozesa ssente z’emiruka bubi
Poliisi mu bitundu by’e Kabale ekakasizza nga bw’egombye obwala mu bakozi b’oku disitulikiti 6 nga bateeberezebwa okukozesa obubi ensimbi za Parish Development Model (PDM) eziwerera ddala obukadde 289. Bano bakuumirwa ku kitebe kya poliisi ekikulu eky’e Kabale nga waliwo n’abalala babiri abakyanoonyezebwa. Okunoonyereza kukyagenda mu maaso era ebinaavaamu bye bijja okusinziirwako okulaba emisango eginaabaggulwako.