UPC ekoze enkyukakyuka mu ntekaateka yaayo eri abegwanyiza kaadi
Ekibiina ki Uganda people’s Congress, UPC kikozeemu enkyuukakyuuka mu nteekateeka yaakyo eri abegwanyiza kaadi yakyo ku bifo ebyenjawulo. Mu kino wajja kubeerawo akamyufu k’ekibiina ak’ekyaama na ddala ku bifo ebinabeera byesimbiddwako abantu abasukka mwomu oluvannyuma lw’okulemererwa okutegeeragana kw'ani alekera munne okukwatira ekibiina bendera. Faizal Muzeeyi omwogezi wa UPC asabye bannakibiina abanaabera bawanguddwa mu kamyuufu obutetantala kuvuganya ku bwanamunigina kubanga kikontana ne ssemateeka w’ekibiina.