‘TIMETABLE’ Y’EBIGEZO EFULUMYE: Etandika n’aba S.4 nga 11 omwezi gwa October
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examinations Board/UNEB kifulumizza olukangagga oba timetable enaagobererwa mu kutuula ebigezo by’ekyomusanvu, siniya ey'okuna n'ey'omukaaga. Timetable eno eraga nti ebigezo byakutandika nga 11 Ogwekkumi n'okufalaasira abayizi ba siniya ey'okuna. Kyokka UNEB egamba nti waliwo abayizi ba siniya ey'okuna abayinza obutaweebwa bubonero olw'amasomero gaabwe okulemererwa okutwalayo obubonero bwebabadde bafuna okuva mu siniya esooka mu curriculum empya. Bano bongeddwayo obudde okukikola.