‘OLIVAAYO NG’OWEZEZZA 97’: Kkooti ekalize omuserikale eyatemula emyaka 50
Kkooti enkulu mu Kampala eriko omuserikale wa poliisi gw'ekalize emyaka 50 mu nkomyo lwa kutuga mwana wa muganda we ow'emyaka 9 n'amutta.Abura Emmanuel omusango ogumuvunaaniddwa yaguzza nga 6 November 2021 mu bitundu by'e Naalya oluvannyuma lw'obutakkaanya ne muganda we gwe baalinga babeera naye.