OKWEKEBEZA COVID-19: Gavumenti esabiddwa okulondoola amalwaliro g’obwannannyini
Akulira ekifo ekinoonyereza ku buwuka omuli n’obwo obukambwe nga aka Corona Virus Pulofeesa Potiano Kaleebu alabudde nti bannayuganda balitekebwako envumbo mu mawanga agamu olwokubeera n’amabaluwa agala nti batekebereddwa kuno nga tebalina kawuka ka Covid-19 ate bwebatuuka eri nebasangibwa nako . Ono ayagala gavumenti essira ku malwaliro g’obwannanyini agamu agagufudde omugano mu kwekebejja abantu ekirwadde kya Covid-19 olumu nebatafaayo ku bukugu bwetaagisa . Ayogedde ne ku nkyukakyuma mu kawuka akaleeta ekirwadde kino ekya Covid-19 .