OKULONDA KW’ABAVUBUKA :Okw’emiruka kwa nkya; akakiiko k’ebyokulonda kalabudde
Akakiiko k’ebyokulonda kafalasidde abalondesa obutetantala okuziimula biragiro byebatekeddwa okutambulirako mu kulondesa obukiiko bwa bavubuka ku muluka.Omwogezi w'akakiiko k'ebyokulonda Julius Mucunguzi agamba nti kumulundi guno sibaakukkiriza kalulu kukubwa kusukka mu ssaawa ezaalambikiddwa .Abavubuka abaalondebwa ku byaalo be bagenda okwetaba mu kulonda kuno.