OGW’OKUTTA KAGEZI:Omupoliisi Ssemujju naye asimbiddwa mu kkooti
Waliwo Omusirikale wa Poliisi eyali ku kabinja ka Flying Squad ayitibwa Abdulnoon Ssemujju kkooti gwegguddeko omusango gw’okutta eyali omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi. Ono awezezza omuwendo gw’abantu mukaaga abali ku musango gw’okuttaka Kagezi. Kagezi eyattibwa mu mwaka gwa 2015 ye yali akulembera oludda oluwaabi mu musango gw’obutujju ogwekuusa ku bbomu ezaatulikira mu Kampala mu mwaka gwa 2010.