OBUWANGUZI BWA CHEPTEGEI: E Kapchorwa bali mu bbinu, kitaawe omutima gwamuceekedde
Munnayuganda Joshua Cheptegei nakati akyatadde bannayuganda obuseko ku matama olwokuwangula empaka za mita omutwalo gumu mu ssaza Oregon mu ggwanga lya Amerika . Ekitundu kye Kapchorwa oba olyawo kiri mu ssanyu lya nsusso olw’obuwanguzi bwa Cheptegei buno. Kitaawe ne bannyina saako ab’ekyalo batubuulidde nti baabadde ku bunkenke okuva e Misinde lwegyatandise. Kitaawe atubuulidde nti aliko byabanja gavumenti.