NAFFE TULI MU KKUBO: Abasomesa ba yunivasite bategeka kwediima
Abasomesa ba yunivasita za Gavumenti zonna bawadde Gavumenti nsalessale w'okubongeza omusaala mu mbalirira y'omwaka gw'ebyensimbi ogutandika omwezi oguggya ng'ekitali ekyo nabo ba kwekalakaasa. Bano bagamba baali basubira ensimbi zebabongeza mu musaala okusomerwa mu mbalirira eyasomebwa wiiki ewedde kyokka nga si bwegwali Kyokka Omwogezi wa minisitule y'ebyenjigiriza Dr. Dennis Mugyimba bano abasabye baleme kwediima kubanga embalirira yamala dda okusomebwa wabula nga bakukolebwaako omwaka omulala.