“MUNOONYE OBUTALE BW’EBINTU BYAFFE”: Museveni akalaatidde ababaka ba Uganda mu mawanga amalala
Pulezidenti Yoweri Museveni akalaatidde ababaka ba Uganda mu mawanga amalala okufuba okunoonya obutale Uganda mwesobola okutunda ebintu nga amatta, seminti n'ebirala .Bino Museveni abyogedde mu kuggalawo okutendekebwa kw'abambasada bano okubadde ku ttendekero ly'ebyobufuzi e Kyankwanzi.