“GENDA OFIIRE EWAKA”: Kkooti esonyiye omukadde ayasobya ku mwana
Waliwo nnamukadde ow'emyaka 78 kkooti enkulu mu Kampala gw'eyimbudde agende alye butaala oluvannyuma lw'okumusonyiwa omusango gw'okujjula ebitanajja ku muwala we wa myaka 7.Godfrey Sozzi aleeteddwa mu kkooti nga aweekeddwa buweekebwa musibe munne olw'embeera embi gy'abaddemu era omulamuzi Margret Mutonyi n'amukwatiirwa ekisa n'amukkiriza agende afiire mu maka ge.