Gavumenti etongozza okuwandiisa abalimi b’emmwanyi okutumbula akatale
Minisitule y'ebyobulimi nga eri wamu n'ekitongole ekikola ku by’emmwanyi mu ggwanga ki Uganda Coffee development Authority batongozza kaweefube w’okuwandiisa abalimi b'emmwanyi obutasukka nga 30 December omwaka guno.Kino kijjidde mu kadde ng’omukago gwa Bulaaya - Uganda gy'esinga okutunda emmwanyi zaayo- kyegujje guteeke obukwakkulizo ku mmwanyi eziva mu Africa , okuwerekerezebwako obukakafu obulaga nti tezaalimwa mu bitundu ng'obutonde bw'ensi bwasooka kusaanyizibwawo.