Eyatuusa obulabe ku mwana akaligiddwa emyaka 15
Mu mwezi Ogwomusanvu mu mwaka gwa 2020, twakulaga omuwala eyali ow’emyaka 16 eyatemebwako omukono ggwe ogwakkono, omusajja bweyali amukaka omukwano. Omuvubuka eyakola kino ye Derrick Kuloba era kkooti y’e Manafwa emusalidde emyaka 15 agy’ebake mu nkomyo oluvannyuma lw’okumusingisa ogw’okugezaako okutta omuntu. Omulamuzi wa Kkooti eno Esther Nalungi era amulagidde okuliwa ensimbi obukadde 50 eri famile y’omuwala olw’obuvune bweyamutuusaako. Herbert Kamoga abadde mu bitundu bye Manafwa eno ng’alondola ensonga eno.