Ab’ebyokulonda bongezzaayo enteekateeka z'okusunsula mu NUP
Ekibiina ki NUP kitegeezezza nga bwekisazeewo okwongerayo omwezi mulamba eri abo abajjayo n’okuzaayo empapula nga baagala okukikwatira bendera ku bifo eby’enjawulo mu kalulu ka 2026. Nga boogerako eri abamawulire olwaleero, abakulira ebyokulonda mu kibiina bategeezezza nti kino bakikoze oluvannyuma lw’okufuna okwemuluganya mu bantu abawerako naddala abo UNEB beekandaaliriza okukakasa ebiwandiiko byabwe eby’obuyigirize. Kyokka bbo abaagala okwatira ekibiina bendera ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga balina lwa nkya lwokka.