70 be baakaggyayo empapula ku bifo by’obubaka bwa palamenti ku kkaadi ya PFF
Abantu abasoba mu 70 bebaakakima empapula z'okwesimbawo ku bifo by’obubaka bwa palamenti ku kaadi y’ekibiina ekijja ki PFF ,oluvanyuma lw'okuggulawo mu butongole enziji olunaku lw'eggulo.Okusinziira ku Latif Waiswa, omukiise ku kakiiko k'ebyokulonda mu kibiina kino, abasinze okuggyayo empapula basinze kuva mu masekkati ga Uganda, ne baddirirwa obugwanjuba.Bano era baakukkiriza abantu abalala okukimirako bannaabwe empapula.