TEWALI SSENTE ZABBIBWA : Aba gav’t boogedde ku lutindo olugatta Kayunga ku Kamuli
Minisita w’ebyemasanyalaze n’obugagga obwensibo Irene Muloni agamba nti ye tamanyi ku bya ssente obuwumbi 24 obwali obwokukola olutindo okuva e Kayunga okudda e Kamuli ezabbibwa.
Olutindo luno lwali lurina kutandikira ku Ddaamu y’e Isimba Ssabiti ewedde sipika wa Palamenti Rebeca Kadaga yategeeza nga bwalina obukakavu nti ssente z’olutindo luno zabbibwa nga namanya yagawereza eri omukulembeze w’eggwanga.