EMPAKA ZA MASAZA: Busiro eri mu kwetegekera omupiira oguggulawo empala
Essaza lya Busrio lyanjudde abazannyi 25 abagenda okwetaba mu mpaka z’amasaza g’omwaka guno ezigenda okuggyibwako akawuuwo ku lw’omukaaga lwa wiiki eno e Wankulukuku. Busiro yegenda okuggulawo empaka z'omulundi guno ngezannya Mawokota era nga erwana kulaba nga yeddiza ekikopo kino kye baawangula ku ntandikwa y’omwaka guno.