YIGA OKUYIIYA: Lukyamuzi akola sigiri mu nkulukuku
Mu yiga okuyiiya olwaleero, katulabe omuvubuka Farooq Lukyamuzi omutuuze ku kyalo Bulamu ekisangibwa e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso akola essigiri okuva mu buswa bw’enkulukuku. Ono agamba nti tolina ky’oyinza kumusuubiza ave ku mulimu gwe.