Raila Odinga awakanyiza ebyalangiriddwa ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda mu Kenya
Raila Odinga awakanyiza ebyalangiriddwa ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda mu Kenya nga bweyawanguddwa munne William Ruto gwebabadde naye ku mbiranye. Ono agamba kati mateeka gegagenda okulamula. Mungeri yeemu n’abakungu b’akakiiko kano abaaganye okukkiriziganya ne mukama wabwe nabo bawadde ensonga lwaki beesambye mukama wabwe byeyalangiridde.