Okweyongera kw'amasundiro g'amafuta mu Kampala: Abateekateekera ebibuga bagamba kyongedde obulabe
Abavunanyizibwa ku nkulakulana y’e bibuga balaze okutya olw’amasundiro g’amafuta agameruka mu buli kasonda ka bibuga awatali na kugoberera mateeka.
Bagamba nti bafubye okusengula amasundiro gano,kyoka waliwo bannabyabufuzi abalemesa entekateeka eno ekiteeka abantu mu bulabe.
Kati bano basazeewo essira kuliteka ku bibuga ebikyakula, okwewala okuteeka abantu ababiwangaliramu mu bulabe.