Aba NUP basiibye batalaaga ebitundu bya Kyaddondo East okuwandiisa bannakibiina
Oluvannyuma lw’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) okutongoza kaweefube w’okuwandiisa abawagizi b’ekibiina mu ggwanga lyonna, abakulembeze b’ekibiina batandise okutalaaga ebitundu byabwe nga bawandiisa abawagazi. Bagamba waliwo obubonero obutandise okweyoleka nti wandibaawo okutaataaganya enteekateeka zaabwe naye tebajja kuwanika. Ab’e Kyaddondo East bakulembeddwamu omubaka waabwe Muwada Nkunnyingi ne beetooloola nga bakunga abawagizi okwewandiisa.