Minisita Diana Mutasingwa akalaatidde abazadde okukuuma abaana abawala mu luwummula
Abazadde bakubiriiddwa okukuumira amaaso ku baana baabwe naddala ab’obuwala mu luwummula luno, okwewala ebyaliwo mu kaseera ak’omuggalo bangi bamale bafune e mbuto. Okusaba kuno kukoleddwa minisita omubeezi ow’ensonga zobwa President Diana Mutasingwa bw’abadde ku ssomero li Impact High school e Lugazi. Abayizi ku ssomero lino boolesezza eby’emikono bye bayize ng’ogyeko amagezi ag’omumutwe.