Bannakibiina kya NUP e Mityana bapookya n'ebisago
Bannakibiina ki NUP e Mityana bali ku bitanda bapookya nabiwundu oluvanyuma lw’okukubibwa bbo bebalumiriza abakuuma ddembe.
Bano batubuulidde nti kati okuwagira Robert Kyagulanyi e Mityana obeera nga azizza omusango.
Yo poliisi egamba nti bano baali benyigidde mu kukuma omuliro mu bantu okwekalakaasa kwekubakwata nga mukavuvung’ano abamu baalumizibwa.